Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani? |
| 2 |
| Abakola obubi bwe bannumba okulya omubiri gwange, Be balabe bange era abankyawa, ne beesittala ne bagwa. |
| 3 |
| Newakubadde ng'eggye lisiisidde okunnwanyisa, Omutima gwange teguutyenga: Newakubadde ng'entalo zimbaddeko, Era ne mu ezo naagumanga omwoyo. |
| 4 |
| Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye. |
| 5 |
| Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi. |
| 6 |
| Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde; Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez'okusanyuka; Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama. |
| 7 |
| Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n'eddoboozi lyange: Era onsaasire, onziremu. |
| 8 |
| Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti Amaaso go, Mukama, naaganoonyanga. |
| 9 |
| Tonkisa amaaso go; Togoba muddu wo mu busungu: Ggwe wabeeranga omubeezi wange; Tonsuula, so tondeka, ai Katonda ow'obulokozi bwange. |
| 10 |
| Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga. |
| 11 |
| Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange. |
| 12 |
| Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala: Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n'abo abassa omukka ogw'obukambwe. |
| 13 |
| Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu. |
| 14 |
| Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/027.mp3
150
27