Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mukama kye kitangaala kyange era ye Mulokozi wange, ani gwe nnaatya? Mukama ye akuuma obulamu bwange, ani anankankanya? |
| 2 |
| Abantu ababi bwe bannumba nga baagala okunzita, beesittala ne bagwa. |
| 3 |
| Eggye eddamba ne bwe lisiisira okunnwanyisa, omutima gwange tegugenda kutya. Ne bwe nnumbibwa mu lutalo, nsigala ndi mugumu. |
| 4 |
| Kye nsabye Mukama, era kye nnoonya, kiri kimu kyokka: obulamu bwange bwonna, ntunuulirenga obulungi bwe, era mmwebuuzengako mu Ssinzizo lye; |
| 5 |
| kubanga mu biseera eby'obuyinike alinkweka omumwe, alinteeka waggulu ku lwazi olwekusifu. |
| 6 |
| Olwo ndiwangula abalabe bange abanneetoolodde. Ndiwaayo ebitambiro mu Ssinzizo lye, nga njaguza. Ndiyimba ne ntendereza Mukama. |
| 7 |
| Ayi Mukama, wulira okukaaba kwange, nkwatirwa ekisa, onziremu. |
| 8 |
| Bwe wagamba nti: “Munnoonye”, naddamu nti: “Ayi Mukama, Gwe gwe nnoonya!” |
| 9 |
| Tonneekweka. Nze omuweereza wo tongoba ng'osunguwadde. Ggwe muyambi wange, tonsuula, era tonjabulira, ayi Katonda Omulokozi wange! |
| 10 |
| Kitange ne mmange ne bwe banjabulira, Mukama anandabiriranga. |
| 11 |
| Ayi Mukama, njigiriza ekkubo ly'oyagala nkwate, nkulembera mu kakubo akatereevu, kubanga nnina abalabe bangi. |
| 12 |
| Tompaayo mu balabe bange, abannumba nga bampaayiriza, era nga bajjudde obukambwe. |
| 13 |
| Mmanyi nti nja kulama, ndabe obulungi bwa Mukama mu bulamu buno. |
| 14 |
| Weesige Mukama, ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Ddala weesige Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/027.mp3
150
27