EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama kye kitangaala kyange era ye mulokozi wange, ani gwe nnaatya? Mukama ya nkuuma, ani anankankanya? |
| 2 |
| Abantu ababi bwe bannumba nga baagala okunzita, Be balabe bange era abankyawa, baneesittala ne bagwa. |
| 3 |
| Eggye eddamba ne bwe lisiisira okunnwanyisa, Omutima gwange tegugenda kutya. Ne bwe nnumbibwa mu lutalo, Nsigala ndi mugumu. |
| 4 |
| Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okumwebuuzangako mu Yeekaalu ye. |
| 5 |
| Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye. Ali nkweka mu weema ye aweekusifu, Waggulu ku lwazi. |
| 6 |
| Bwentyo bwe n'awangula abalabe bange abanneetooloodde. Era n'awaayo mu weema ye ssaddaaka nga nsanyuka, Ne nnyimba ne ntendereza Mukama. |
| 7 |
| Wulira, ayi Mukama, okukaaba kwange, Onsaasire, onziremu. |
| 8 |
| Bwe wagamba nti, “Munoonye amaaso gange,” omutima gwange gwakugamba nti, “Ggwe gwe nnaannoonyanga” |
| 9 |
| Tonneekweka. Togoba muddu wo mu busungu. Ggwe obadde omuyambi wange, Tonsuula, era tondeka, ayi Katonda Omulokozi wange. |
| 10 |
| Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama anandabiriranga. |
| 11 |
| Onjigirizenga ekkubo lyo, ayi Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu kakubo akaterevu, Kubanga nnina abalabe bangi. |
| 12 |
| Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala, Bannumba nga bampaayiriza, nga bajjudde obukambwe. |
| 13 |
| Nzikiriza nti ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu. |
| 14 |
| Lindirira Mukama, Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/027.mp3
150
27