×

Luganda Bible

Zabbuli 28

1
Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga; Olwazi lwange, togaana kumpulira: Nneme okuba ng'abo abakka mu bunnya, Oba nga ononsiriikirira.
2
Wulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira, Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky'oyogereramu.
3
Tompalulira wamu n'ababi, N'abo abakola obutali butuukirivu; Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
4
Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe: Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola; Obasasule bye basaanidde.
5
Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba.
6
Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
7
Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.
8
Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
9
Lokola abantu bo, owenga omukisa ab'obusika bwo: Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes