Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, Ggwe ontaasa, nkukoowoola, mpulira! Bw'ononsiriikirira, nja kuba ng'abo abakka emagombe! |
| 2 |
| Ayi Mukama wange, wulira okukaaba kwange nga nkusaba onnyambe, nga nnyimusa emikono gyange eri ekifo kyo ekitukuvu ennyo. |
| 3 |
| Tontwalira mu boonoonyi, mu abo abakola ebibi, aboogera ne bannaabwe eby'emirembe, sso ng'obukyayi bwe buli mu mitima gyabwe. |
| 4 |
| Ggwe babonereze olw'ebikolwa byabwe, ng'ogerera ku bibi bye bakola. Bawe empeera esaanira emirimu gyabwe. |
| 5 |
| Mukama by'akola tebabifaako, alibamenyerawo ddala n'atabazzaawo. |
| 6 |
| Mukama atenderezebwe kubanga awulidde bye mmusaba. |
| 7 |
| Mukama ye ampa amaanyi, era ye antaasa, mmwesiga. Annyamba ne nsanyuka, nnyimba okumutendereza. |
| 8 |
| Mukama ye awa abantu be amaanyi, ye ataasa n'awonya omusiige we. |
| 9 |
| Lokola abantu bo be weefunira, era obawe omukisa. Ggwe oba obalabirira, obawanirirenga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/028.mp3
150
28