BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Ya Dawudi. Ayi Mukama, nkoowoola gy'oli; Olwazi lwange, tonzibira kutu kwo, kubanga bw'ononsiriikirira, nzija kufaanana ng'abaserengeta mu bunnya. |
| 2 |
| Wulira eddoboozi ly'okuwanjaga kwange nga nkulaajanira, nga nsitulira emikono eri Awatukuvu, mu Kitukuvu kyo. |
| 3 |
| Tompalaawalira kumu n'ababi, awamu n'abo abakola obubi, aboogeza eddembe ne bannaabwe, sso nga baterese bukyayi mu mutima gwabwe. |
| 4 |
| Baweere ng'ebikolwa byabwe bwe biri, ng'ogerera ku bikolwa byabwe ebibi. Basasule ng'emikono gyabwe bwe gyakola; baddize nga bwe baakola. |
| 5 |
| Kubanga tebaafa ku Mukama byakola, na ku mulimu gw'emikono gye, alibamenyawo, talibazimba buggya. |
| 6 |
| Omukama agulumizibwe, kubanga awulidde eddoboozi ly'okuwanjaga kwange; |
| 7 |
| Omukama ge maanyi gange, engabo yange; omutima gwange gwamwesiga, ne nnyambibwa; Omutima gwange gujaguza; Nzija kumwebaza n'oluyimba lwange. |
| 8 |
| Omukama ge maanyi g'abantu be; kye kigo ky'obulokofu bw'omusiige we. |
| 9 |
| Lokola abantu bo, wa omukisa obusika bwo; balunde, era obawanirire emirembe gyonna. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/028.mp3
150
28