Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange, tolema kumpuliriza; kubanga bw’onoonsiriikirira nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya. |
| 2 |
| Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange, nga mpanise emikono gyange okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, nga nkukaabirira okunnyamba. |
| 3 |
| Tontwalira mu boonoonyi, abakola ebibi; abanyumya obulungi ne bannaabwe, so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere. |
| 4 |
| Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri, n’olw’ebyambyone bye bakoze. Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, obabonereze nga bwe basaanidde. |
| 5 |
| Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama, oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye, alibazikiririza ddala, era talibaddiramu. |
| 6 |
| Atenderezebwe Mukama, kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange. |
| 7 |
| Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga. |
| 8 |
| Mukama y’awa abantu be amaanyi, era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta. |
| 9 |
| Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/028.mp3
150
28