EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Mukama, Ggwe nkoowoola, Olwazi lwange, togaana kumpulira. Bw'ononsirikirira, Nja kuba ng'abo abakka emagombe. |
| 2 |
| Wulira okukaaba kwange nga nkusaba onnyambe, Nga nnyimusa emikono gyange eri ekifo kyo ekitukuvu. |
| 3 |
| Tontwalira mu boonoonyi, N'abo abakola ebibi, Aboogera ne bannaabwe eby'emirembe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe. |
| 4 |
| Obabonereze ng'emirimu gyabwe bwe giri, era ng'obubi bwabwe bwe buli. Bawe empeera Esaanira emirimu gyabwe. |
| 5 |
| Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba. |
| 6 |
| Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde bye mmusaba. |
| 7 |
| Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange. Omutima gwange gumwesiga, annyamba. Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo, Nnaayimbanga okumutendereza. |
| 8 |
| Mukama ge maanyi g'abantu be, Kye kinnunulo eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta. |
| 9 |
| Lokola abantu bo, obawenga omukisa, Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/028.mp3
150
28