Luganda Bible
|
| 1 |
| Mumuwe Mukama, mmwe abaana b'abazira, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi. |
| 2 |
| Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira; Mumusinze Mukama mu butuukirivu obuwooma. |
| 3 |
| Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi: Katonda ow'ekitiibwa abatuka, Ye Mukama, ku mazzi amangi. |
| 4 |
| Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa. |
| 5 |
| Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni. |
| 6 |
| Era agizinyisa ng'ennyana; Lebanooni ne Siriyoni ng'ennyana y'embogo, |
| 7 |
| Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez'omuliro. |
| 8 |
| Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi. |
| 9 |
| Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amabira, Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa. |
| 10 |
| Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna. |
| 11 |
| Mukama aliwa amaanyi abantu be; Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/029.mp3
150
29