Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mmwe ab'omu ggulu, mutendereze Mukama, waakitiibwa era muzira, mumutendereze. |
| 2 |
| Mutendereze erinnya lye eryekitiibwa, mumusinze nga musaanidde mu kifo kye ekitukuvu. |
| 3 |
| Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi, Katonda oweekitiibwa abwatuka, eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi. |
| 4 |
| Eddoboozi lya Mukama lya maanyi, eddoboozi lya Mukama lyakitiibwa nnyo! |
| 5 |
| Eddoboozi lya Mukama limenya emivule, Mukama amenya emivule gy'omu Lebanooni. |
| 6 |
| Ensozi z'omu Lebanooni azizinyisa ng'ennyana, n'Olusozi Siriyooni ne luzina ng'embogo ento. |
| 7 |
| Eddoboozi lya Mukama livaamu ennimi ez'omuliro. |
| 8 |
| Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu, Mukama akankanya eddungu ly'e Kadesi. |
| 9 |
| Eddoboozi lya Mukama liyuuguumya emivule, likunkumulira ddala amakoola g'amabira. |
| 10 |
| Mukama ye afuga omujjuzo gw'amazzi, afuga nga Kabaka emirembe gyonna. |
| 11 |
| Mukama awa abantu be amaanyi, abawa omukisa n'emirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/029.mp3
150
29