EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mmwe ab'omu ggulu, Mumutendereze Mukama, |
| 2 |
| Muwe ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira. Mumusinze Mukama mu butuukirivu bwonna. |
| 3 |
| Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi, Katonda ow'ekitiibwa abwatuka, Eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi. |
| 4 |
| Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa. |
| 5 |
| Eddoboozi lya Mukama limenya emivule, Mukama amenyaamenya emivule gy'omu Lebanooni. |
| 6 |
| Ensozi z'omu Lebanooni azizinyisa ng'ennyana, Olusozi Siriyooni ne luzina ng'embogo ento. |
| 7 |
| Eddoboozi lya Mukama livaamu ennimi ez'omuliro. |
| 8 |
| Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi. |
| 9 |
| Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amakoola g'amabira. Era mu Yeekaalu ye buli kintu kyogera nti, “Ekitiibwa.” |
| 10 |
| Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna. |
| 11 |
| Mukama awa abantu be amaanyi. Mukama omukisa gw'awa abantu be gye mirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/029.mp3
150
29