Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abagolokoka okunnumba bangi. |
| 2 |
| Bangi aboogera ku mmeeme yange Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera) |
| 3 |
| Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange. |
| 4 |
| N'eddoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera) |
| 5 |
| Naagalamira ne nneebaka; Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma. |
| 6 |
| Siritya bukumi bwa bantu, Abaneetooloola okunnumba. |
| 7 |
| Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama, Wamenya amannyo g'ababi. |
| 8 |
| Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera) |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/003.mp3
150
3