×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 3

1
Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Bangi abasituka okunnumba.
2
Bangi abanjogerako nti: “Katonda taamuyambe.”
3
Naye ayi Mukama, ggwe ngabo enkuuma. Ggwe nneenyumiririzaamu, ggwe ompanirira.
4
Nkoowoola Mukama, n'anziramu ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
5
Ngalamira ne neebaka, ne nzuukuka, kubanga Mukama ankuuma.
6
Sitya nkumi na nkumi z'abalabe abanneetooloola okunnumba.
7
Ayi Mukama, jjangu ondokole, ayi Katonda wange! Ggwe okuba abalabe bange empi ku ttama, n'omenya amannyo g'aboonoonyi.
8
Mukama, era ggwe olokola, n'owa abantu bo omukisa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes