Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi! |
| 2 |
| Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.” |
| 3 |
| Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi. |
| 4 |
| Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. |
| 5 |
| Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira. |
| 6 |
| Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba. |
| 7 |
| Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi. |
| 8 |
| Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/003.mp3
150
3