EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abayimuka okunnumba bangi. |
| 2 |
| Bangi abanjogerako nga bagamba nti, “Katonda taamuyambe.” |
| 3 |
| Naye ggwe, Ayi Mukama, oli ngabo enkuuma. Gwe Kitiibwa kyange, era ampanirira. |
| 4 |
| Nkoowoola Mukama, N'anziramu ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. |
| 5 |
| Ngalamira ne nneebaka, Ne nzuukuka, kubanga Mukama ampanirira. |
| 6 |
| Sitya nkumi na nkumi z'abalabe, Abanneetooloola okunnumba. |
| 7 |
| Yimuka, Ayi Mukama, ondokole, Ayi Katonda wange: Kubanga okuba abalabe bange bonna ku ttama, N'omenya amannyo g'ababi. |
| 8 |
| Obulokozi buva eri Mukama, omukisa gwo gubeere ku bantu bo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/003.mp3
150
3