×

Luganda Bible

Zabbuli 30

1
Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza, N'otobampanguza abalabe bange.
2
Ai Mukama Katonda wange, Naakukoowoola, naawe n'omponya.
3
Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe: Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya.
4
Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
5
Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
6
Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti Sirisagaasagana emirembe gyonna.
7
Ggwe, Mukama, mu kisa kyo wali onywezezza olusozi lwange: N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.
8
Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama; Era Mukama ne mwegayirira;
9
Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya? Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?
10
Wulira, ai Mukama, onsaasire: Mukama, ggwe beera omubeezi wange.
11
Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina; Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu:
12
Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika. Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes