Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Nkugulumiza ayi Mukama, kubanga omponyezza, n'otoleka balabe bange kunneeyagalirako. |
| 2 |
| Ayi Mukama, Katonda wange, nakukoowoola onnyambe, n'omponya. |
| 3 |
| Ayi Mukama, wanzigya mu ntaana, wamponya okukka emagombe, n'onzizaamu obulamu. |
| 4 |
| Mmwe abantu ba Katonda abeesigwa muyimbe nga mumutendereza, mumwebaze Omutuukirivu. |
| 5 |
| Obusungu bwe buba bwa kaseera buseera, ekisa kye kya bulamu bwaffe bwonna. Amaziga agayiika mu kiro, gaddirirwa ssanyu mu makya. |
| 6 |
| Bwe nali obulungi ne ŋŋamba nti: “Sirinyeenyezebwa n'akatono.” |
| 7 |
| Mu kisa kyo, ayi Mukama, wali onnywezezza ng'olusozi. Naye bwe wanneekisa, ne neeraliikirira. |
| 8 |
| Ayi Mukama, nkukoowoola, nkwegayirira onnyambe. |
| 9 |
| Kale bwe nnaafa, onoogasibwa ki nga nzikiridde emagombe? Enfuufu eneekutenderezanga? Era eneekulangiriranga nga bw'oli omwesigwa? |
| 10 |
| Wulira, ayi Mukama onkwatirwe ekisa, ayi Mukama, onnyambe. |
| 11 |
| Okunakuwala kwange okufudde kubiibya. Onzigyeko obuyinike n'onzijuza essanyu. |
| 12 |
| N'olwekyo siisirikenga, nnaayimbanga okukutendereza. Ayi Mukama Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/030.mp3
150
30