Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama, kubanga wannyimusa; n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako. |
| 2 |
| Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n’omponya. |
| 3 |
| Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe, n’omponya ekinnya. |
| 4 |
| Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu. |
| 5 |
| Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde. |
| 6 |
| Bwe namala okunywera ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.” |
| 7 |
| Ayi Mukama, bwe wanjagala, wanyweza olusozi lwange; naye bwe wankweka amaaso go ne neeraliikirira. |
| 8 |
| Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama; ne nkukaabirira Mukama, onsaasire. |
| 9 |
| “Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga n’etegeeza abantu obwesigwa bwo? |
| 10 |
| Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire; Ayi Mukama, onnyambe.” |
| 11 |
| Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu. |
| 12 |
| Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga. Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/030.mp3
150
30