|
| 1 |
|
| Ayi Mukama, nzirukira gy'oli, tondeka kuswala n'akatono. Ggwe omutuukirivu, ndokola. |
|
| 2 |
|
| Ntegera okutu, yanguwa okumponya. Beera ekiddukiro kyange, onkuume. Nzibira, ondokole. |
|
| 3 |
|
| Ddala ggwe kiddukiro kyange, ggwe onzibira. Nkuuma onkulembere, nga bwe wasuubiza. |
|
| 4 |
|
| Nzigya mu kitimba kye banteze, kubanga nzirukira gy'oli. |
|
| 5 |
|
| Nkukwasizza omwoyo gwange, kubanga ondokodde, ayi Mukama. Ggwe Katonda omwesigwa. |
|
| 6 |
|
| Okyawa abasinza ebitaliimu, naye nze nneesiga Mukama. |
|
| 7 |
|
| Nnaasanyukanga ne njaguza olw'ekisa kyo, kubanga walaba okubonaabona kwange, n'omanya obuyinike bwange. |
|
| 8 |
|
| Tewandeka kuwambibwa mulabe, wampa eddembe okutambula yonna gye njagala. |
|
| 9 |
|
| Ayi Mukama, nkwatirwa ekisa, kubanga zinsanze! Amaaso gange gakooye olw'amaziga, nzigwereddemu ddala amaanyi, |
|
| 10 |
|
| kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike. Emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda. Amaanyi gampweddemu olw'obuyinike bwange, n'amagumba gange gennyini gakozze! |
|
| 11 |
|
| Abalabe bange bonna bangaya, baliraanwa bange banneenyinyala. Mikwano gyange bantya, bwe bandaba mu kkubo, banziruka. |
|
| 12 |
|
| Nneerabiddwa ng'omufu, nfuuse ng'ekibya ekyatise. |
|
| 13 |
|
| Mpulira bangi nga beegeya, entiisa enneetoolodde wonna. Bateeseza wamu ku nze, nga basala amagezi okunzita. |
|
| 14 |
|
| Naye nze neesiga ggwe, ayi Mukama, ŋŋamba nti: “Ggwe Katonda wange.” |
|
| 15 |
|
| Obulamu bwange buli mu mikono gyo, ggwe nzigya mu mikono gy'abalabe bange, n'egy'abo abanjigganya. |
|
| 16 |
|
| Ntunuuliza busaasizi nze omuweereza wo, ondokole olw'ekisa kyo. |
|
| 17 |
|
| Ayi Mukama, tondeka kuswala, kubanga nkoowoola ggwe. Ababi be baba baswala, bawereekerezebwe mu kasirise emagombe. |
|
| 18 |
|
| Buniza emimwa gy'abalimba abo, aboogera obubi ku batuukirivu bo. |
|
| 19 |
|
| Ebirungi byo nga bingi bye waterekera abakussaamu ekitiibwa! Abantu bonna balaba by'okolera abakwesiga. |
|
| 20 |
|
| Obakweka gy'oli, n'obawonya enkwe z'abantu. Obakuumira aweesiifu, ne bawona okuvumibwa. |
|
| 21 |
|
| Mukama atenderezebwe, kubanga andaze ekisa kye ekingi, mu kibuga ekiriko ekigo. |
|
| 22 |
|
| Mu kutya okungi nagamba nti: “Ngobeddwa mu maaso go!” Naye wawulira okwegayirira kwange, nga nkusaba onnyambe. |
|
| 23 |
|
| Mwagale Mukama mmwe mwenna abantu be abeesigwa. Mukama akuuma abamwesiga, naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde. |
|
| 24 |
|
| Mwenna abalina essuubi mu Mukama, mube ba maanyi, mugume omwoyo. |
|
|
|
|