|
| 1 |
|
| Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange, leka nneme kuswazibwa. Ndokola mu butuukirivu bwo. |
|
| 2 |
|
| Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya. |
|
| 3 |
|
| Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange; olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye. |
|
| 4 |
|
| Omponye mu mutego gwe banteze; kubanga ggwe kiddukiro kyange. |
|
| 5 |
|
| Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima. |
|
| 6 |
|
| Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala; nze nneesiga Mukama. |
|
| 7 |
|
| Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo, kubanga olabye okubonaabona kwange era omanyi ennaku endi ku mwoyo. |
|
| 8 |
|
| Tompaddeeyo mu balabe bange, naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi. |
|
| 9 |
|
| Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olw’ennaku; omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike. |
|
| 10 |
|
| Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange ne giggwaawo olw’okusinda. Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange, n’amagumba ganafuye. |
|
| 11 |
|
| Abalabe bange bonna bansekerera, banneetamiddwa. Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange, n’abandaba mu kkubo banziruka. |
|
| 12 |
|
| Nneerabiddwa ng’eyafa edda; nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu. |
|
| 13 |
|
| Buli ludda mpulirayo obwama nga bangeya; bye banteesaako nga basala olukwe okunzita. |
|
| 14 |
|
| Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama; nga njogera nti, “Oli Katonda wange.” |
|
| 15 |
|
| Entuuko zange ziri mu mikono gyo; ondokole mu mikono gy’abalabe bange n’abangigganya. |
|
| 16 |
|
| Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo; ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo. |
|
| 17 |
|
| Ayi Mukama tondeka kuswazibwa, kubanga nkukoowoola; leka abo ababi baswale, era bagalamire emagombe nga basirise. |
|
| 18 |
|
| Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba kasirisibwe, kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo, nga babyogeza amalala n’okunyooma. |
|
| 19 |
|
| Obulungi bwo, bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, n’obuwa mu lwatu abo abaddukira gy’oli. |
|
| 20 |
|
| Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe, n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo, n’ennyombo z’abantu ne zitabatuukako. |
|
| 21 |
|
| Mukama atenderezebwenga kubanga yandaga okwagala kwe okungi, bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza. |
|
| 22 |
|
| Bwe natya ennyo ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.” Kyokka wampulira nga nkukaabirira n’onsaasira. |
|
| 23 |
|
| Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna! Mukama akuuma abo abamwesiga, naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu. |
|
| 24 |
|
| Muddeemu amaanyi mugume omwoyo mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama. |
|
|
|
|