Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Wa mukisa oyo asonyiyibwa ekyonoono kye, n'aggyibwako ekibi kye. |
| 2 |
| Omuntu oyo wa mukisa, Mukama gw'abala nti talina kibi, era ataliimu bukuusa. |
| 3 |
| Bwe nali nga nkyasirikidde ekibi kyange, naggweeramu ddala amaanyi olw'okukaaba olunaku lwonna, |
| 4 |
| kubanga wambonerezanga emisana n'ekiro, amaanyi ne ganzigweramu ddala ng'amazzi bwe gakala mu kyeya. |
| 5 |
| Olwo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sikisa byonoono byange. Nagamba nti: “Ka njatulire Mukama ebyonoono byange.” Naawe n'onsonyiwa omusango gw'ekibi kyange. |
| 6 |
| Buli muweereza wo kyanaavanga akwegayirira ng'ali mu biseera ebizibu. Ennaku ne bw'eryalaala ng'amazzi, terimutuukako. |
| 7 |
| Ggwe kiddukiro kyange, olimponya obuyinike n'onzijuza essanyu olw'okulokolebwa. |
| 8 |
| Mukama agamba nti: “Ndikuyigiriza ne nkulaga ekkubo ly'onookwatanga. Nnaakubuuliriranga, ne nkulabirira. |
| 9 |
| Temuba ng'embalaasi wadde ennyumbu ezitalina magezi, z'oteekwa okufuga nga zisibiddwa ekyuma mu kamwa n'enkoba mu kifuba, ziryoke zisembere w'oli.” |
| 10 |
| Ababi ba kubonaabona nnyo; naye abeesiga Mukama, abakuuma n'ekisa kye. |
| 11 |
| Mmwe abantu ba Katonda abeesigwa, musanyuke mujaguze olw'ebyo Mukama by'akola. Nammwe mwenna ab'omutima omulongoofu muleekaane olw'essanyu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/032.mp3
150
32