BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Ya Dawudi. Masukili. Yeesiimye ow'omusango ogusonyiyiddwa, ow'ekibi ekikisiddwa. |
| 2 |
| Yeesiimye oyo Omukama gw'atavunaana kibi kye, ow'omutima omutali bukuusa. |
| 3 |
| Bwe nasirikanga amagumba gange nga gaggweerera, olw'okukungubaganga olunaku lwonna. |
| 4 |
| Anti omukono gwo gwannyigirizanga emisana n'ekiro; amaanyi gange ne gakalira ng'agookeddwa ebbugumu ly'ekyeya. |
| 5 |
| Ekibi kyange nakikwatulira; ekyonoono kyange saakikisa. Nagamba nti: “Nzija kwatulira Omukama omusango gwange.” Naawe wansoyiwa omusango gw'ekibi kyange. |
| 6 |
| Buli mutuufu yenna kyaliva yeegayirira gy'oli, mu budde obw'obuyinike; amazzi enkuyanja bwe galifumbukuka, tegalimutuukako. |
| 7 |
| Ggwe buddukiro bwange, olimponya obuyinike, n'ombugaanya okujaganya olw'okulokolebwa. |
| 8 |
| Ndikubuulira ne nkuyigiriza ekkubo ly'oba okwata; ndikubuulirira ne nkussaako amaaso gange. |
| 9 |
| Temubeera nga mbalaasi na nnyumbu, ezitalina magezi; zifugibwa na malobo na nkoba, we bitali tezirikusemberera. |
| 10 |
| Ebiwoobe by'ababi byo bingi, naye asuubira mu Mukama ekisa kye kimubugiriza. |
| 11 |
| Musanyukire mu Mukama, era mujaguze mmwe abatuukirivu, mujaganye, mwenna ab'omutima omuluŋŋamu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/032.mp3
150
32