Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo. |
| 2 |
| Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa. |
| 3 |
| Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna. |
| 4 |
| Wambonerezanga emisana n’ekiro, amaanyi ne ganzigwamu ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya. |
| 5 |
| Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bw’otyo n’onsonyiwa, n’onziggyako omusango gw’ebibi byange. |
| 6 |
| Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa bakwegayirire ng’okyalabika; oluvannyuma ebizibu bwe birijja, ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako. |
| 7 |
| Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi. |
| 8 |
| Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira. |
| 9 |
| Temubeeranga ng’embalaasi oba ennyumbu ezitategeera, ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba, ziryoke zifugibwe zijje gy’oli. |
| 10 |
| Ababi balaba ennaku nnyingi; naye abeesiga Mukama bakuumirwa mu kwagala kwe okutaggwaawo. |
| 11 |
| Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu, era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/032.mp3
150
32