×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 32

1
Wa mukisa oyo asonyiyiddwa ekyonoono, n'aggyibwako ekibi kye.
2
Wa mukisa oyo Mukama gw'atabalira butali butuukirivu, Ne mu mwoyo gwe nga temuli bukuusa.
3
Bwe nnasirikiranga ekibi kyange, naggweeramu ddala amaanyi, Olw'okukaaba kwange obudde okuziba.
4
Kubanga wambonerezanga emisana n'ekiro, Amaanyi gange ne ganzigweramu ddala ng'amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5
Ne nkwatulira ekibi kyange, n'obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka. N'agamba nti, “Nnaayatulira Mukama ebyonoono byange.” Naawe n'onsonyiwa obutali butuukirivu bwange.
6
N'olw'ekyo buli atya Katonda akusabenga ng'ali mu biseera ebizibu. Ennaku ne bw'eryalaala ng'amazzi amangi, terimutuukako.
7
Ggwe kiddukiro kyange, onoonkuumanga mu kulaba ennaku, Nnaayimbiranga waggulu olw'okundokola.
8
Mukama agamba nti, “Nnaakuyigirizanga ne nkulaga ekkubo ly'onooyitangamu. Nnaakubuuliriranga, ne nkulabirira.”
9
Temuba nga mbalaasi, oba ennyumbu, ezitalina magezi, Z'oteekwa okusiba ekyuma n'olukoba okuzifuga, Awatali ebyo, tezirijja gy'oli.
10
Ababi ba kubonaabona nnyo; Naye abo abeesiga Mukama abakuuma n'ekisa kye.
11
Musanyukire Mukama, mujaguze, mmwe abatuukirivu: Mwogerere waggulu olw'essanyu, mwenna abalina omutima ogw'amazima.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes