|
| 1 |
|
| Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima. |
|
| 2 |
|
| Mumwebaze Mukama n'ennanga: Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi. |
|
| 3 |
|
| Mumuyimbire oluyimba oluggya; Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene. |
|
| 4 |
|
| Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu; N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa. |
|
| 5 |
|
| Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde ekisa kya Mukama. |
|
| 6 |
|
| Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake. |
|
| 7 |
|
| Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo: Atereka amadubi mu mawanika. |
|
| 8 |
|
| Ensi zonna zityenga Mukama: Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga. |
|
| 9 |
|
| Kubanga yayogera ne kikolebwa; Yalagira ne kinywera. |
|
| 10 |
|
| Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu. |
|
| 11 |
|
| Okuteesa kwa Mukama kunywera ennaku zonna, N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna. |
|
| 12 |
|
| Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa; Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye. |
|
| 13 |
|
| Mukama alengera ng'ayima mu ggulu; Atunuulira abaana b'abantu bonna; |
|
| 14 |
|
| Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba Ku abo abali mu nsi bonna; |
|
| 15 |
|
| Abumba emitima gyabwe bonna, Alowooza ebikolwa byabwe byonna. |
|
| 16 |
|
| Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi: Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi. |
|
| 17 |
|
| Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi. |
|
| 18 |
|
| Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe; |
|
| 19 |
|
| Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa, N'okubakuumanga abalamu mu njala. |
|
| 20 |
|
| Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe. |
|
| 21 |
|
| Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo, Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu. |
|
| 22 |
|
| Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe. |
|
|
|
|