Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Abatuukirivu mwenna musanyuke olw'ebyo Mukama by'akola, musanyuke mumutendereze mmwe ab'omutima omulongoofu. |
| 2 |
| Mwebaze Mukama nga mumuyimbira ku nnanga, mumukubire entongooli ey'enkoba ekkumi. |
| 3 |
| Mugikubise magezi n'obukugu, mumuyimbire oluyimba oluggya, nga muleekaana olw'essanyu. |
| 4 |
| Mukama by'ayogera bya mazima, era by'akola byesigika. |
| 5 |
| Ayagala obutuufu n'amazima, ensi yajjula okwagala kwe. |
| 6 |
| Katonda yalagira, eggulu ne litondebwa, ebiririmu byonna byakolebwa na kigambo kye. |
| 7 |
| Akuŋŋaanyiza amazzi mu nnyanja, ne gaba ng'agali mu nsuwa. Amazzi ag'ebuziba agateeka mu materekero. |
| 8 |
| Ensi yonna etye Mukama, ab'oku nsi bonna bamusseemu ekitiibwa, |
| 9 |
| kubanga yayogera ensi n'ebaawo, yalagira n'enywera. |
| 10 |
| Mukama aggyawo ebyo amawanga bye gateesa, abantu abalemesa bye bamaliridde okukola. |
| 11 |
| Ye by'ateesa bisigalawo ennaku zonna, ebirowoozo bye bibeerera emirembe gyonna. |
| 12 |
| Eggwanga eririna Mukama Katonda nga gwe lisinza lya mukisa; abantu be yalonda okuba ababe, ba mukisa. |
| 13 |
| Mukama asinziira mu ggulu n'alengera, n'alaba abantu bonna, |
| 14 |
| asinziira ku ntebe ye ey'obwakabaka n'alaba abali ku nsi bonna. |
| 15 |
| Ye yakola emitima gya bonna, era yekkaanya byonna bye bakola. |
| 16 |
| Kabaka tawangula lwa ggye ddene, omutabaazi tawona lwa maanyi ge mangi. |
| 17 |
| Embalaasi tegasa okuwangula. Ne bw'eba ey'amaanyi ennyo, si ye ewonya omuntu. |
| 18 |
| Mukama atunuulira abamussaamu ekitiibwa. Atunuulira abeesiga ekisa kye, |
| 19 |
| okubawonya okufa n'okubakuuma nga balamu mu biseera eby'enjala. |
| 20 |
| Tulindirira Mukama, ye atubeera era ye atutaasa. |
| 21 |
| Tusanyukira mu ye, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu. |
| 22 |
| Ayi Mukama nga bwe tukwesiga, tukwatirwe ekisa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/033.mp3
150
33