|
| 1 |
|
| Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu; kisaanira abalongoofu okumutenderezanga. |
|
| 2 |
|
| Mutendereze Mukama n’ennanga, mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi. |
|
| 3 |
|
| Mumuyimbire oluyimba oluggya; musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu. |
|
| 4 |
|
| Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima; mwesigwa mu buli ky’akola. |
|
| 5 |
|
| Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya. Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo. |
|
| 6 |
|
| Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa. |
|
| 7 |
|
| Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu, agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago. |
|
| 8 |
|
| Ensi yonna esaana etyenga Mukama, n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa; |
|
| 9 |
|
| kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa, n’alagira n’eyimirira nga nywevu. |
|
| 10 |
|
| Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga; alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera. |
|
| 11 |
|
| Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera. |
|
| 12 |
|
| Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo, ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be. |
|
| 13 |
|
| Mukama asinziira mu ggulu n’alaba abaana b’abantu bonna; |
|
| 14 |
|
| asinziira mu kifo kye mw’abeera n’alaba abantu bonna abali ku nsi. |
|
| 15 |
|
| Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna ne yeetegereza byonna bye bakola. |
|
| 16 |
|
| Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye; era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi. |
|
| 17 |
|
| Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere; newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola. |
|
| 18 |
|
| Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya; abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo, |
|
| 19 |
|
| abawonya okufa, era abawonya enjala. |
|
| 20 |
|
| Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe. |
|
| 21 |
|
| Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu. |
|
| 22 |
|
| Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe, Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe. |
|
|
|
|