|
| 1 |
|
| Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo. |
|
| 2 |
|
| Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama: Abawombeefu baliwulira, balisanyuka. |
|
| 3 |
|
| Mumukuze Mukama wamu nange, Tugulumize erinnya lye fenna. |
|
| 4 |
|
| Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna. |
|
| 5 |
|
| Baamutunuulira, ne balaba omusana: Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna. |
|
| 6 |
|
| Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna. |
|
| 7 |
|
| Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola. |
|
| 8 |
|
| Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga. |
|
| 9 |
|
| Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: Kubanga tebabulwa kintu abamutya. |
|
| 10 |
|
| Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna. |
|
| 11 |
|
| Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: Naabayigirizanga okutya Mukama. |
|
| 12 |
|
| Muntu ki ayagala obulamu, Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi? |
|
| 13 |
|
| Ziyizanga olulimi lwo mu bubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bukuusa. |
|
| 14 |
|
| Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga. |
|
| 15 |
|
| Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, N'amatu ge gawulira okukaaba kwabwe. |
|
| 16 |
|
| Obwenyi bwa Mnkama buba ku abo abakola obubi, Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi. |
|
| 17 |
|
| Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna. |
|
| 18 |
|
| Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde. |
|
| 19 |
|
| Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna. |
|
| 20 |
|
| Akuuma amagumba ge gonna: Linnaago erimu terimenyeka. |
|
| 21 |
|
| Obubi bulitta omubi: N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango. |
|
| 22 |
|
| Mukama anunula emmeeme y'abaddu be: So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango. |
|
|
|
|