Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mukama nnaamwebazanga bulijjo, nnaamutenderezanga obutamala. |
| 2 |
| Nneenyumirizanga mu Mukama, ababonaabona bawulire basanyuke. |
| 3 |
| Mujje tugulumize Mukama, ffenna tumutendereze. |
| 4 |
| Neegayirira Mukama, n'anziriramu, n'amponya byonna ebyali bintiisa. |
| 5 |
| Bonna abatunuulira gy'ali basanyuka, era tebaliswala n'akatono. |
| 6 |
| Omunaku amuwulira, n'amuggya mu buzibu bwe bwonna. |
| 7 |
| Malayika wa Mukama yeebungulula abawulira Mukama, n'abataasa. |
| 8 |
| Mulegeeko mulabe nga Mukama bw'ali omulungi! Wa mukisa oyo amwesiga. |
| 9 |
| Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abaweereza be, kubanga abamussaamu ekitiibwa tebajula kantu. |
| 10 |
| Obwana bw'empologoma oluusi bubulwa emmere ne bulumwa enjala. Naye abanoonya Mukama, tebajula kirungi na kimu. |
| 11 |
| Mujje baana bange, muntegere amatu, mbayigirize okussaamu Mukama ekitiibwa. |
| 12 |
| Oyagala okunyumirwa obulamu, okuwangaala n'okufuna ebirungi? |
| 13 |
| Ziyiza olulimi lwo okwogera ekibi, n'emimwa gyo okwogera eby'obulimba. |
| 14 |
| Va mu bibi, okolenga ebirungi, noonya emirembe, gy'oba ogobereranga. |
| 15 |
| Mukama alabirira abatuukirivu, era awulira okukaaba kwabwe. |
| 16 |
| Kyokka aboonoonyi, abatunuuliza bukambwe; alaba nti tebajjukirwenga mu nsi. |
| 17 |
| Abantu ba Mukama abeesigwa bamukoowoola n'abawulira, n'abaggya mu bizibu byabwe byonna. |
| 18 |
| Mukama abeera kumpi n'abeenenyezza mu mutima, alokola ababoneredde mu mwoyo. |
| 19 |
| Omuntu omulungi abonaabona mu bingi, naye Mukama abimuwonya byonna. |
| 20 |
| Akuuma amagumba ge gonna, tekulimenyekako na limu. |
| 21 |
| Ekibi kiritta omubi, abakyawa obutuukirivu balibonerezebwa. |
| 22 |
| Mukama anunula abaweereza be. Tewali n'omu ku bamwesiga alisingibwa musango. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/034.mp3
150
34