|
| 1 |
|
| Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo. |
|
| 2 |
|
| Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama; ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga. |
|
| 3 |
|
| Kale tutendereze Mukama, ffenna tugulumizenga erinnya lye. |
|
| 4 |
|
| Nanoonya Mukama, n’annyanukula; n’ammalamu okutya kwonna. |
|
| 5 |
|
| Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaaswalenga. |
|
| 6 |
|
| Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula, n’amumalako ebyali bimuteganya byonna. |
|
| 7 |
|
| Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, n’abawonya. |
|
| 8 |
|
| Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali. |
|
| 9 |
|
| Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga. |
|
| 10 |
|
| Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako. |
|
| 11 |
|
| Mujje wano baana bange, mumpulirize; mbayigirize okutya Mukama. |
|
| 12 |
|
| Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi, okuba mu ssanyu emyaka emingi? |
|
| 13 |
|
| Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba. |
|
| 14 |
|
| Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi; noonya emirembe era ogigobererenga. |
|
| 15 |
|
| Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe. |
|
| 16 |
|
| Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi. |
|
| 17 |
|
| Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya. |
|
| 18 |
|
| Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise. |
|
| 19 |
|
| Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi, naye byonna Mukama abimuyisaamu. |
|
| 20 |
|
| Amagumba ge gonna Mukama agakuuma, ne watabaawo na limu limenyeka. |
|
| 21 |
|
| Ekibi kiritta abakola ebibi, n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa. |
|
| 22 |
|
| Mukama anunula abaweereza be; so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa. |
|
|
|
|