×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 34

1
Nneebazanga Mukama mu biro byonna, Nnamutenderezanga bulijjo.
2
Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama, Ababonaabona bawulire basanyuke.
3
Mujje tugulumize Mukama, Tugulumize erinnya lye fenna.
4
Nneegayirira Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna.
5
Mumutuunulire, musanyuke, Temulikwatibwa nsonyi n'akatono.
6
Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna.
7
Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.
8
Mulegeeko mulabe nga Mukama bw'ali omulungi. Wa mukisa oyo amwesiga.
9
Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be, Kubanga tebabulwa kintu abamutya,
10
Obwana bw'empologoma oluusi bubulwa emmere ne bulumwa enjala; Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
11
Mujje, baana bange, mumpulire, Mbayigirize okutya Mukama.
12
Oyagala okunyumirwa obulamu, okuwangaala n'okufuna ebirungi?
13
Ziyizanga olulimi lwo okwogera obubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bya bulimba.
14
Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga.
15
Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, Era awulira okukaaba kwabwe.
16
Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi, Alaba nti tebajjukirwenga mu nsi.
17
Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
18
Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.
19
Ebibonoobono eby'omutuukirivu bingi, Naye Mukama amulokola mu byonna.
20
Akuuma amagumba ge gonna, Nekutamenyekako na limu.
21
Obubi bulitta omubi, N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.
22
Mukama anunula abaddu be, So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes