|
| 1 |
|
| Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange. |
|
| 2 |
|
| Kwata engabo n'akagabo, Oyimirire okunnyamba. |
|
| 3 |
|
| Era sowola n'effumu, ozibire ekkubo abo abanjigganya: Ogambe emmeeme yange nti Nze bulokozi bwo. |
|
| 4 |
|
| Bakwatibwe ensonyi baswazibwe abanjigganya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi. |
|
| 5 |
|
| Babeere ng'ebisusunku ebitwalibwa n'empewo, Era malayika wa Mukama ng'abagoba. |
|
| 6 |
|
| Ekkubo lyabwe libeere ekizikiza n'obuseerezi. Era malayika wa Mukama ng'abayigganya. |
|
| 7 |
|
| Kubanga awatali nsonga bankisizza mu bunnya ekyambika kyabwe, Awatali nsonga basimidde emmeeme yange. |
|
| 8 |
|
| Okuzikirira kumujjeko nga talaba; N'ekyambika kye kye yakisa kimukwate ye yennyini: Akigwemu n'okuzikirira: |
|
| 9 |
|
| N'emmeeme yange erisanyukira Mukama: Erijaguliza obulokozi bwe. |
|
| 10 |
|
| Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga? |
|
| 11 |
|
| Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose; Bambuuza ebigambo bye ssimanyi. |
|
| 12 |
|
| Bansasula obubi ku lw'obulungi, Okweraliikiriza emmeeme yange. |
|
| 13 |
|
| Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu: Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba; N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange. |
|
| 14 |
|
| Ne mba nga bwe nnaakubadde, singa yali mukwano gwange oba muganda wange: Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina: |
|
| 15 |
|
| Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana: Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya; Ne banjuza, ne batalekaayo: |
|
| 16 |
|
| Ng'abo abatatya Katonda abaduula mu mbaga, Bwe baaluma obujigi bwe batyo, nga bansunguwalira. |
|
| 17 |
|
| Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe, Kaganzi kange mu mpologoma. |
|
| 18 |
|
| Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: Ndikutenderereza mu bantu abangi. |
|
| 19 |
|
| Abo abalabe bange baleme okunsanyukirako n'obulimba: Era abankyawa awatali nsonga baleme okutemya ekikowe. |
|
| 20 |
|
| Kubanga teboogera mirembe: Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abatereera mu nsi. |
|
| 21 |
|
| Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe; Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba. |
|
| 22 |
|
| Ggwe wakiraba, si Mukama; tosirika: Ai Mukama, tombeera wala. |
|
| 23 |
|
| Golokoka, ozuukuke okunsalira omusango, Era olw'ensonga yange, Katonda wange era Mukama wange. |
|
| 24 |
|
| Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; So tobaganya kunsanyukirako; |
|
| 25 |
|
| Baleme okwogera mu mutima gwabwe nti Bw'otyo bwe twagala bwe tutyo: Baleme okwogera nti Tumumize bugobo. |
|
| 26 |
|
| Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna abasanyukira nze okulaba akabi: Bambale ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako. |
|
| 27 |
|
| Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we. |
|
| 28 |
|
| N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba. |
|
|
|
|