|
| 1 |
|
| Ayi Mukama, wakanya abampakanya, olwane n'abannwanyisa. |
|
| 2 |
|
| Kwata engabo ennene n'entono, ositukiremu onnyambe. |
|
| 3 |
|
| Abanjigganya bagalulire effumu lyo, oŋŋambe nti: “Ndi Mulokozi wo.” |
|
| 4 |
|
| Abaagala okunzita bakwatibwe ensonyi baswale, abateesa okunkolako akabi bazzibweyo emabega nga basobeddwa. |
|
| 5 |
|
| Malayika wa Mukama abagobe, babe ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga. |
|
| 6 |
|
| Ekkubo lyabwe Malayika wa Mukama mw'abagobera, libeemu ekizikiza n'obuseerezi, |
|
| 7 |
|
| kubanga bantega ekitimba kyabwe awatali nsonga, baasima obunnya mbugwemu. |
|
| 8 |
|
| Naye okuzikirira kubatuukeko nga tebamanyi, n'ekitimba kye bantega kikwase bo bennyini bazikirire. |
|
| 9 |
|
| Olwo ndisanyukira ebyo Mukama by'akola, ndijaguza kubanga andokola. |
|
| 10 |
|
| N'amaanyi gange gonna ndigamba Mukama nti: “Ayi Mukama, teri akwenkana ggwe! Omunafu omuwonya abamusinza ennyo amaanyi, omwavu omuwonya abamunyagako ebibye.” |
|
| 11 |
|
| Abantu ababi basituka ne bannumiriza ebigambo bye simanyinako. |
|
| 12 |
|
| Mu birungi bansasulamu bibi, ne bammalamu amaanyi. |
|
| 13 |
|
| Kale bo bwe baalwala, nayambala ekikutiya, ne nneebonereza nga nsiiba, ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe, |
|
| 14 |
|
| nga bwe nandisabidde mukwano gwange, oba muganda wange. Nagendanga nneewese olw'ennaku, ng'alirira nnyina. |
|
| 15 |
|
| Naye nze bwe nagwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera. Ne be simanyi ne bankuba awatali kuweera. |
|
| 16 |
|
| Ne banduulira ng'abatatya Katonda, ne baluma n'obugigi nga bansunguwalidde. |
|
| 17 |
|
| Ayi Mukama, olituusa wa okutunuulira obutunuulizi? Mponya abaagala okunzita. Obulamu bwange buwonye empologoma zino. |
|
| 18 |
|
| Olwo ndikwebaliza mu lukuŋŋaana lw'abantu bo, ndikutendereza mu maaso ga bonna. |
|
| 19 |
|
| Abalabe bange abampaayiriza, tobakkiriza kunneewanikako. Era abankyawa awatali nsonga, tobaganya kunyigiragana ku liiso ku lwange, nga basanyuka. |
|
| 20 |
|
| Teboogera bya mirembe, naye bateesa bya bulimba ku bateredde emirembe mu nsi. |
|
| 21 |
|
| Bannumirizza nga baleekaana nti: “Twalaba kye wakola!” |
|
| 22 |
|
| Bino obirabye, ayi Mukama, tosirika busirisi. Ayi Mukama, tombeera wala. |
|
| 23 |
|
| Situka, ayi Mukama ontaase. Golokoka, ayi Katonda wange, osale omusango gwange! |
|
| 24 |
|
| Ayi Mukama, sala omusango gwange, nga bw'oli omwenkanya, era toleka balabe bange kunneewaanirako. |
|
| 25 |
|
| Baleme kugamba mu mitima gyabwe nti: “Otyo, tufunye kye twagala: oyo tumumazeewo!” |
|
| 26 |
|
| Bonna abasanyukira obuyinike bwange bakwatibwe ensonyi baswale. Abanneekulumbalizaako, bajjule ensonyi n'okunyoomebwa. |
|
| 27 |
|
| Abo abaagala nsinge omusango baleekaane olw'essanyu, bajaguze, era bagambe bulijjo nti: “Mukama agulumizibwe, asanyuka okulaba omuweereza we ng'awangudde.” |
|
| 28 |
|
| Olwo ndirangirira obutuukirivu bwo, ne nkutendereza olunaku lwonna. |
|
|
|
|