×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 35

1
Ya Dawudi. Ayi Mukama, vunaana abanvunaana, lwanyisa abannwanyisa.
2
Kwata empaala n'engabo entono, situka onziruukirire.
3
Weza ekitala n'akajogolo, olwanyise abanjigganya. Gamba omwoyo gwange nti: “Nze bulokofu bwo.”
4
Baswale, ensonyi zibakwate, abo abanoonya obulamu bwange; bazzibweyo ennyuma nga baswavu, abo abategeka okunzikiriza.
5
Babe ng'ebisusunku mu mpewo, nga malayika w'Omukama abasindiikiriza.
6
Ekkubo lyabwe lijjule enzikiza n'obuseerezi nga malayika w'Omukama abagoba.
7
Kubanga bankweka ekitimba kyabwe awatali nsonga, obulamu bwange baabusimira obuya awatali nsonga.
8
Akabenje kabagwikirize; ekitimba kye bankwese kibakwate; bagwe mu buya bwabwe bazikirire.
9
Olwo ndijaguliza mu Mukama, ndisanyuka olw'okundokola.
10
Amagumba gange gonna galigamba nti: “Ayi Mukama, ani akufaanana?” Ggwe awonya omunaku mu mikono gy'abamusinga amaanyi, omunaku n'omwavu mu mikono gy'ababanyaga.
11
Abajulirwa ab'ettima baasituka, bambuuzanga ku bye nali simanyiiko kantu.
12
Ekirungi baakinsasulamu na kibi; bandeka ttayo.
13
Sso bwe baali balwadde, nayambala ekikutiya, ne neebonereza nga nsiiba. Neegayiriranga nga nkotese omutwe ku lubuto lwange.
14
Nagendanga nkaaba, kyenkana ng'alirira ow'omukwano oba ow'oluganda; nakotekanga omutwe olw'ennaku, kyenkana ng'alirira nnyabo.
15
Naye bwe nasirittuka, baasanyuka busanyusi, bankuŋŋaanirako ne bankuba nga sikirindiridde, ne bampaayiriza awatali kusalako.
16
Bansekereranga mu ngeri embi, ne bannumira obugigi.
17
Ayi Mukama, onootuusa wa okutunula obutunuzi? Ntaasa obukambwe bwabwe, n'obulamu bwange buno bwokka buwonye empologoma.
18
Ndikugulumiza mu lukuŋŋaana olukulu, ndikutenda mu kafukunya k'abantu.
19
Abalabe bange baleme kunneeyagalirako awatali nsonga; abankyayira obwereere baleme kutta ku liiso.
20
Anti teboogeza ddembe, wabula bafumbirira eby'okuvunaana abo abatebenkedde mu nsi.
21
Banjasamiza akamwa kaabwe; bagamba nti: “K'olabe, k'olabe! Twerabiddeko n'agaffe!”
22
Naawe okirabye, ayi Mukama, leka kusirika; ayi Mukama, leka kunneesuuba.
23
Weegugumule, situka ompolereze olw'ensonga zange, Katonda wange, Mukama wange.
24
Nnamula ng'ogerera ku butuukirivu bwo, ayi Mukama Katonda wange, era tobaleka kunneeyagalirako.
25
Tobaleka kugamba mu mitima gyabwe nti: “Otyo! Ky'ekyo kye twegombanga,” oba okugamba nti: “Tumukavvudde.”
26
Baswale, bakwatibwe ensonyi bonna, abo abasanyukira ennaku zange; ensonyi zibabune, banyoomebwe abo abanneewulirirako.
27
Abasanyukira mu kwejjeerera kwange baleekaane olw'essanyu, bajaganye; bulijjo bagambe nti: “Omukama atenderezebwe, eyeeyagalira mu ssanyu ly'omuweereza we.”
28
Olulimi lwange lulirangirira obutuukirivu bwo; n'ettendo lyo olunaku lwonna.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes