|
| 1 |
|
| Ayi Mukama, wakana n'abo abawakana nange, Lwana n'abo abalwana nange. |
|
| 2 |
|
| Kwata engabo n'akagabo, Osituukiremu onnyambe. |
|
| 3 |
|
| Galula effumu lyo, Eri abo abanjigganya, Oŋŋambe nti, “Nze bulokozi bwo.” |
|
| 4 |
|
| Bakwatibwe ensonyi baswale, Abaagala okunzita, Bazzibwe emabega nga basobeddwa abateesa okunkola akabi. |
|
| 5 |
|
| Malayika wa Mukama abagobe, Babe ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga. |
|
| 6 |
|
| Ekkubo lyabwe libeemu ekizikiza n'obuseerezi. Malayika wa Mukama mw'abagobera. |
|
| 7 |
|
| Kubanga bantega ekitimba, Awatali nsonga, Baasima obunnya mbugwemu. |
|
| 8 |
|
| Okuzikirira kubatuukeko nga tebamanyi, N'ekitimba kye bantega kikwase bo Bennyini bazikirire. |
|
| 9 |
|
| Olwo ndisanyukira Mukama, Ndijaguza olwo obulokozi bwe. |
|
| 10 |
|
| N'omutima gwange gwonna ndigamba nti, “Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omunafu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu eri oyo amunyagako ebibye?” |
|
| 11 |
|
| Abajulirwa ab'obulimba basituka Bannumiriza ebigambo bye ssimanyinako. |
|
| 12 |
|
| Bansasula obubi ku lw'obulungi, Ne bammalamu amaanyi. |
|
| 13 |
|
| Naye bo bwe baalwala, n'ayambala ebibukutu, Ne nnebonereza nga nsiiba, Ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe. |
|
| 14 |
|
| Nnakola nga bwe nandikoledde mukwano gwange, oba muganda wange, Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina. |
|
| 15 |
|
| Naye nze bwe n'agwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera. Ne be simanyi, Ne banjeyereza obutasalako. |
|
| 16 |
|
| Ne banduulira ng'abatatya Katonda, Ne baluma obujiji nga bansunguwalidde. |
|
| 17 |
|
| Ayi Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Mponya abaagala okunzita. Obulamu bwange buwonye empologoma zino. |
|
| 18 |
|
| Olwo ndikwebaliza mu kibiina ekinene, Ndikutenderereza mu bantu abangi. |
|
| 19 |
|
| Abalabe bange abampaayiriza, tobakkiriza kunneewaanirako. Era abankyawa awatali nsonga, tobaganya kunyigiragana ku liiso ku lwange nga basanyuka. |
|
| 20 |
|
| Kubanga teboogera bya mirembe, Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abateredde emirembe mu nsi. |
|
| 21 |
|
| Bannumiriza nga baleekaana nti, “Twalaba kye wakola! |
|
| 22 |
|
| Bino byonna wabiraba, ayi Mukama, tosirika busirisi. Ayi Mukama, tombeera wala. |
|
| 23 |
|
| Situka, Ayi Mukama, ontaase. Osale omusango gwange, Katonda wange era Mukama wange. |
|
| 24 |
|
| Sala omusango gwange, Ayi Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; Toganya balabe bange kunneewaanirako. |
|
| 25 |
|
| Baleme kugamba mu mitima gyabwe nti, Otyo, tufunye kye twagala: Oyo Tumumize bugobo! |
|
| 26 |
|
| Bonna abasanyukira nze okulaba akabi, bakwatibwe ensonyi baswale. Bajjule ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako. |
|
| 27 |
|
| Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abo abaagala nsinge omusango. Era boogerenga bulijjo nti, Mukama agulumizibwe, Asanyuka okulaba ng'omuddu we ng'awangudde. |
|
| 28 |
|
| Olwo ndirangirira obutuukirivu bwo, Ne ttendo lyo obudde okuziba.” |
|
|
|
|