Luganda Bible
|
| 1 |
| Ekyonoono ky'omubi kyogerera mu mutima gwange nti Tewali kutya Katonda mu maaso ge. |
| 2 |
| Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye, Ng'obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa. |
| 3 |
| Ebigambo eby'akamwa ke bwe butali butuukirivu n'obulimba: Alese okuba n'amagezi n'okukola obulungi. |
| 4 |
| Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi. |
| 5 |
| Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu Obwesige bwo bubuna ebbanga. |
| 6 |
| Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda; Emisango gyo bwe buziba obunene: Ai Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo. |
| 7 |
| Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. |
| 8 |
| Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo. |
| 9 |
| Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu: Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana. |
| 10 |
| Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya; N'obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw'amazima. |
| 11 |
| Toganya kigere kya malala okunjijirako, Newakubadde omukono gw'omubi okungoba. |
| 12 |
| Eri gye bagudde abakola obutali butuukirivu; Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/036.mp3
150
36