×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 36

1
Ekibi kyogerera mu mutima gw'omwonoonyi. Tassaamu Katonda kitiibwa n'akatono,
2
kubanga yeegulumiza, n'alowooza nti ekibi kye tekirirabibwa ne kikyayibwa.
3
Byonna by'ayogera bibi era bya bulimba, aleseeyo okukola eby'amagezi era ebirungi.
4
Ne bw'aba mu kitanda kye, ateesa kukola bibi; anywerera mu mpisa ze embi, n'atabaako kibi ky'akyawa.
5
Ayi Mukama, ekisa kyo kituuka ne ku ggulu, obwesigwa bwo butuuka ne mu bire.
6
Obutuufu bwo buli ng'ensozi engulumivu, ennamula yo ekka ng'ennyanja ey'eddubi. Ayi Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.
7
Ayi Mukama, ekisa kyo kya muwendo nnyo, era abantu baddukira gy'oli.
8
Bakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo. Obaleka ne banywa amazzi ku mugga gwo ogwesiimisa,
9
kubanga mu ggwe mwe muli ensibuko y'obulamu. Mu kitangaala kyo mwe tulabira ekitangaala.
10
Kale yongera okulaga ekisa kyo eri abakumanyi, n'obulungi bwo, eri abalina emitima emirongoofu.
11
Toganya beekulumbaza kunnumba, wadde ababi okungoba we ndi.
12
Laba aboonoonyi bwe bagudde eri, bameggeddwa ne batasobola kuyimuka.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes