Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nnina obubaka mu mutima gwange obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi. N’okutya tatya Katonda. |
| 2 |
| Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera oba okukyawa ekibi kye. |
| 3 |
| Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba; takyalina magezi era takyakola birungi. |
| 4 |
| Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola; amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu, era ebitali bituufu tabyewala. |
| 5 |
| Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu; obwesigwa bwo butuuka ku bire. |
| 6 |
| Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene, n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo. Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo. |
| 7 |
| Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo. |
| 8 |
| Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa. |
| 9 |
| Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu, era gw’otwakiza omusana. |
| 10 |
| Yongeranga okwagala abo abakutegeera, era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu. |
| 11 |
| Ab’amalala baleme okunninnyirira, wadde ababi okunsindiikiriza. |
| 12 |
| Laba, ababi nga bwe bagudde! Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/036.mp3
150
36