×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 36

1
Ekibi kyogerera mu mutima gw'omwonoonyi nti, “Tossaamu Katonda kitiibwa n'akatono.”
2
Kubanga yeegulumiza, N'alowooza nti ekibi kye tekirirabibwa ne kikyayibwa.
3
Ebigambo by'ayogera bibi era bya bulimba. Aleseeyo okukola eby'amagezi era ebirungi.
4
Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi.
5
Ekisa kyo, Ayi Mukama, kituuka ne ku ggulu, Obwesige bwo butuuka ne mu bire.
6
Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi engulumivu, Ennamula yo ekka ng'ennyanja ey'eddubi. Ayi Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.
7
Ekisa kyo, Ayi Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abantu baddukira gy'oli.
8
Banakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo. Obaleka ne banywa amazzi ku mugga ogw'essanyu lyo.
9
Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu. Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
10
Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanyi, N'obulungi bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11
Toganya ab'amalala okunnumba, wadde ababi okungoba we ndi.
12
Laba aboonoonyi bwe bagudde eri, Bameggeddwa wansi, era tebasobola kusitukawo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes