×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 37

1
Toggweebwangako mirembe olw'ababi, wadde okukwatibwa ensaalwa olw'abo abakola ebibi,
2
kubanga balifa mangu ng'omuddo ogukala, balibulawo ng'ebimera ebiwotoka ne bifa.
3
Weesigenga Mukama, okolenga ebirungi, lw'olibeera emirembe ku nsi.
4
Essanyu linoonyenga mu Mukama, alikuwa ebyo omutima gwo bye gwegomba.
5
Weeteekenga mu mikono gya Mukama; mwesigenga, anaakuyambanga.
6
Anaalaganga bw'oli omutuufu, n'oyaka ng'omusana ogw'ettuntu.
7
Sirika ogumiikirizenga mu maaso ga Mukama, olindirirenga ye ky'anaakola. Teweeraliikiriranga abo abatuukiriza ebibi bye bateesa okukola, buli kye bakola ne kibagendera bulungi.
8
Lekanga obusungu n'ekiruyi, era teweeraliikiriranga. Ebyo tebivaamu kalungi.
9
Ababi balizikirizibwa. Naye abeesiga Mukama, ensi eriba yaabwe.
10
Mu kaseera katono, ababi baliba tebakyaliwo. Ne bw'olibanoonya we babadde, tolibalaba.
11
Ensi eriba ya beetoowaze, ne basanyuka awatali kibatawaanya.
12
Omubi yeewerera omulungi, era amutunuuliza bukambwe.
13
Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi nti banaatera okuzikirizibwa.
14
Ababi basowola ebitala, ne baleega n'emitego gy'obusaale bwabwe, okutta abaavu n'abateeyamba, n'okumalawo ab'empisa ennungi.
15
Naye ebitala byabwe ebyo biritta bo bennyini. N'emitego gyabwe girimenyeka.
16
Ebitono eby'omulungi, bikira obugagga bw'ababi abangi,
17
kubanga ababi, Mukama alibamala amaanyi, n'akuuma abalungi.
18
Mukama alabirira abatalina musango, era ensi eriba yaabwe ennaku zonna.
19
Mu biseera eby'akabi tebalirumwa. Ne mu biseera eby'enjala, banaalyanga ne bakkuta.
20
Naye ababi balifa, abalabe ba Mukama baliggwaawo ng'ebimuli eby'omu ttale. Baliggwaawo ng'omukka.
21
Omubi yeewola n'atasasula. Naye omulungi akola eby'ekisa, agaba ebirabo.
22
Abo Mukama b'awa omukisa ensi eriba yaabwe. Kyokka abo b'akolimira balizikirira.
23
Mukama aluŋŋamya omuntu mu kkubo ettuufu, era akuuma abo abamusanyusa.
24
Ne bwe bagwa tebalemera wansi, kubanga Mukama abayamba okuyimuka.
25
Kaakano nkuze era nkaddiye, naye sirabanga muntu mulungi Mukama gw'ayabulira, wadde abaana be nga basabiriza ebyokulya.
26
Bulijjo omulungi akola eby'ekisa, awola abalala, n'abaana be bamwesiimisa.
27
Va mu bibi okolenga ebirungi, lw'olibeera n'obutaka obw'olubeerera.
28
Mukama ayagala ebituufu, era tayabulira bamwesiga. Abakuuma emirembe gyonna. Naye ezzadde ly'omubi, lirizikirizibwa.
29
Abakola Katonda by'ayagala, ensi eriba yaabwe. Banaagibeerangamu emirembe gyonna.
30
Omuntu omulungi ayogera eby'amagezi, era bibaamu ensonga.
31
Akuuma amateeka ga Katonda we mu mutima gwe, era tagaviirako ddala.
32
Omubi atunuulira omulungi, ng'ayagala okumutta;
33
naye Mukama talireka mulungi mu buyinza bwa mubi, wadde okumuleka okusalirwa omusango okumusinga.
34
Weesigenga Mukama, okwatenga ebiragiro bye, alikugulumiza, ensi ebe yiyo. Era oliraba ababi bwe bazikirizibwa.
35
Nalaba omubi eyeekulumbaza era anyooma buli omu, ng'agulumidde ng'omuti omuwanvu ogumeze mu ttaka eggimu.
36
Naye bwe nakomawo, yali takyaliwo. Namunoonya, naye saamulaba.
37
Wekkaanye omuntu atalina musango, omanye ow'omutima omulongoofu. Omuntu ow'emirembe afuna abazzukulu,
38
naye aboonoonyi bazikirizibwa bonna, ezzadde lyabwe ne liggweerawo ddala.
39
Mukama alokola abantu abalungi, era abakuuma mu biseera eby'okubonaabona.
40
Abayamba n'abataasa, n'abawonya ababi, kubanga beeyuna gy'ali.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes