×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 37

1
Toggweebwangako mirembe olw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya olw'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
2
Kubanga baliggwaawo mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera.
3
Weesigenga Mukama, okolenga obulungi, Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa.
4
Essanyu lyo linoonyenga mu Mukama, Naye anaakuwanga omutima gwo bye gwegomba.
5
Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakuyambanga.
6
Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'oyaka ng'omusana ogw'ettuntu.
7
Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza. Teweeraliikiriranga abo abatuukiriza okukola ebibi, Na buli kye bakola nga kibagendera bulungi.
8
Lekanga obusungu, n'ekiruyi, Teweeraliikiriranga. Ebyo tebivaamu kalungi konna.
9
Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.
10
Mu kaseera katono, Ababi baliba tebakyaliwo. Ne bw'olibanoonya we babadde, tolibalabawo.
11
Naye abawombeefu balisikira ensi, Era banaagisanyukirangamu awatali kibatawaanya.
12
Omubi yeewerera omutuukirivu, Era amutunuuliza bukambwe.
13
Mukama asekerera ababi, Kubanga amanyi nti banaatera okuzikirizibwa.
14
Ababi basowola ebitala, ne baleega emitego gyabwe, Okutta abaavu n'abateeyamba, N'abo abatambulira mu kkubo eddungi.
15
Naye ebitala byabwe biritta bo bennyini. N'emitego gyabwe girimenyeka.
16
Ebitono omutuukirivu by'alina Bisinga obugagga obw'ababi abangi.
17
Kubanga ababi, Mukama alibamala amaanyi, Naye Mukama anyweza abatuukirivu.
18
Mukama amanyi ennaku z'abo abatalina musango, N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.
19
Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga.
20
Naye ababi balizikirizibwa, N'abalabe ba Mukama baliggwaawo ng'ebimuli eby'omu ttale. Balibula; baliggwaawo ng'omukka.
21
Omubi yeewola, n'atasasula. Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba.
22
Abo Mukama b'awa omukisa gwe balisikira ensi. N'abo b'akolimira balizikirizibwa.
23
Mukama aluŋŋamya omuntu mu kkubo ettuufu, Era akuuma abo abamusanyusa.
24
Ne bwe bagwa tebalemera wansi, Kubanga Mukama abayamba okuyimuka.
25
Nali muto, kaakano nkaddiye, Naye sirabanga mutuukirivu Mukama gwayabulira, Wadde abaana be nga basabiriza emmere.
26
Bulijjo akola eby'ekisa, n'awola abalala, N'abaana be babeera ba mukisa.
27
Vvanga mu bubi, okolenga obulungi, Olwo olibeerawo emirembe n'emirembe.
28
Kubanga Mukama ayagala ebituufu, Era tayabulira abo abamwesiga. Abakuuma emirembe gyonna. Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa.
29
Abatuukirivu balisikira ensi, Banaagibeerangamu emirembe gyonna.
30
Omutuukirivu ayogera eby'amagezi, Era bibaamu ensonga.
31
Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe, Era tagaviirako ddala.
32
Omubi atunuulira omutuukirivu, Ng'ayagala okumutta.
33
Naye Mukama talimuleka mu buyinza bwa mubi, Wadde okumuleka okusalirwa omusango okumusinga.
34
Weesigenga Mukama, okwatenga ebiragiro bye, Naye alikugulumiza okusikira ensi. Era oliraba ababi bwe balizikirizibwa.
35
Nnalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti omuwanvu ogumeze ku ttaka eggimu.
36
Naye bwenakomawo, laba nga takyaliwo. Namunoonya, naye ssaamulaba.
37
Wekkaanye omuntu atalina musango, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe.
38
Aboonoonyi, balizikirizibwa bonna, Ezzadde lyabwe ne liggwerawo ddala.
39
Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama, Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
40
Era Mukama abayamba, n'abawonya: Abawonya eri ababi, n'abalokola, Kubanga bamweyuna ye.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes