×

Luganda Bible

Zabbuli 38

1
Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo: So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2
Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala, N'omukono gwo gunnyigirizza nnyo.
3
Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; So temuli kuwona mu magumba gange olw'okwonoona kwange.
4
Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng'omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.
5
Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange.
6
Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo; Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.
7
Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8
Nnyongobera, mmenyesemenyese: Mpulugumye olw'okweraliikirira kw'omutima gwange.
9
Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go; N'okusinda kwange tekukukisibwa.
10
Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu: Omusana ogw'amaaso gange, era nagwo gumbuze.
11
Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda bange bayimirira wala.
12
Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega; N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima, Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba.
13
Naye nze, ng'omuzibe w'amatu, ssiwulira; Era nninga omusiru atayasama kamwa ke.
14
Mazima, nninga omuntu atawulira, Ne mu kamwa ke temuli kunenya.
15
Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira: Oliddamu, ai Mukama Katonda wange.
16
Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako: Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.
17
Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera, N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.
18
Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange; Naanakuwalanga olw'okwonoona kwange.
19
Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi: N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde.
20
Era n'abo abasasula obubi olw'obulungi. Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi.
21
Tondeka, ai Mukama: Ai Katonda wange, tombeera wala.
22
Yanguwa okunnyamba, Ai Mukama, obulokozi bwange.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes