×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 38

1
Ayi Mukama, tonnenya mu busungu bwo, tombonereza ng'okambuwadde.
2
Onfumise n'obusaale bwo, onkubye ne ngwa wansi.
3
Mpulira obulumi olw'obusungu bwo, omubiri gwange gwonna gulwadde olw'ebibi byange.
4
Nzitoowereddwa ebibi byange, biri ng'omugugu ogutasitulikika.
5
Olw'obusirusiru bwange, ebiwundu byange bivunze ne biwunya.
6
Mpeteddwa ne ngalamizibwa wansi, nkaaba olunaku lwonna.
7
Nzijudde ebbugumu ery'omusujja, sikyawulira bulamu mu mubiri gwange
8
Nnyongobedde, mmenyesemenyese, nsinda olw'obuyinike mu mutima.
9
Ayi Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, n'okusinda kwange okuwulira.
10
Omutima gwange gumpakuka nnyo, amaanyi gampweddemu. Amaaso gange tegakyalaba.
11
Olw'ebiwundu byange, mikwano gyange ne baliraanwa bange tebakyansemberera, ne baganda bange banneesuula.
12
Abaagala okunzita bantega emitego, abanjagaliza obubi banjogerera eby'obukambwe. Buli kiseera bansalira enkwe.
13
Naye nze ndi nga kiggala, sikyawulira; era ndi nga kasiru, sikyayogera.
14
Ddala ndi ng'atawulira, era atasobola kwanukula.
15
Ayi Mukama, neesiga ggwe Mukama Katonda wange, ggwe ononnyanukula.
16
Nkusaba nti toleka balabe bange kusanyuka olw'obuyinike bwange. Tobakkiriza kunneewaanirako nga ngudde.
17
Ndi kumpi okugwa, ndi mu bulumi obutasalako.
18
Njatula ebibi byange, nneenenya olw'okwonoona.
19
Abalabe bange balamu, ba maanyi. N'abankyayira obwemage bangi.
20
Mbakolera ebirungi, naye bo bankolera bibi. Bampalana kubanga nfuba okukola ebirungi.
21
Ayi Mukama, tonjabulira. Katonda wange, tombeera wala.
22
Yanguwa okunnyamba, ayi Mukama, omulokozi wange.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes