|
| 1 |
|
| Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu, oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi. |
|
| 2 |
|
| Kubanga obusaale bwo bunfumise, n’omuggo gwo gunkubye nnyo. |
|
| 3 |
|
| Obusungu bwo bundwazizza nzenna, n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange. |
|
| 4 |
|
| Omusango gwe nzizizza guyitiridde, gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika. |
|
| 5 |
|
| Ebiwundu byange bitanye era biwunya, olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru. |
|
| 6 |
|
| Nkootakoota era mpweddemu ensa, ŋŋenda nsinda obudde okuziba. |
|
| 7 |
|
| Omugongo gunnuma nnyo, ne mu mubiri gwange temukyali bulamu. |
|
| 8 |
|
| Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese; nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima. |
|
| 9 |
|
| Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, n’okusinda kwange okuwulira. |
|
| 10 |
|
| Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu; n’okulaba sikyalaba. |
|
| 11 |
|
| Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange; ne bannange tebakyansemberera. |
|
| 12 |
|
| Abaagala okunzita bantega emitego, n’abo abangigganya bateesa okummalawo. Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi. |
|
| 13 |
|
| Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira; nga kiggala, atayogera. |
|
| 14 |
|
| Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira, atasobola kwanukula. |
|
| 15 |
|
| Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama, onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange. |
|
| 16 |
|
| Tobakkiriza kunneeyagalirako, oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde. |
|
| 17 |
|
| Kubanga nsemberedde okugwa, era nga nnumwa buli kiseera. |
|
| 18 |
|
| Ddala ddala njatula ebyonoono byange; nnumirizibwa ekibi kyange. |
|
| 19 |
|
| Abalabe bange bangi era ba maanyi; n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo. |
|
| 20 |
|
| Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu, era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana. |
|
| 21 |
|
| Ayi Mukama, tonjabulira; tobeera wala nange, Ayi Katonda wange. |
|
| 22 |
|
| Ayi Mukama Omulokozi wange, yanguwa okumbeera. |
|
|
|
|