×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 38

1
Ayi Mukama, tonnenya mu busungu bwo, Tombonereza ng'okambuwadde.
2
Onfumise n'obusaale bwo, Onkubye ne ngwa wansi.
3
Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; Omubiri gwange gwonna gulwadde olw'ebibi byange.
4
Nzitoowereddwa ebibi byange, Biri ng'omugugu omuzito ennyo.
5
Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange.
6
Nfunyiddwa ne ngalamizibwa wansi, Nkaaba obudde okuziba.
7
Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8
Nnyongobedde, mmenyesemenyese, Nsinda olw'obuyinike obuli mu mutima gwange.
9
Ayi Mukama, bye njagala byonna obimanyi, N'okusinda kwange okuwulira.
10
Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu. Amaaso gange, tegakyalaba.
11
Mikwano gyange ne baliraanwa tebakyansemberera, olw'ebiwundu byange. Ne baganda bange banneesuula.
12
Abaagala okunzita bantega emitego, N'abo abanjagaliza obubi banjogerera eby'ettima. Buli kiseera bansalira enkwe.
13
Naye nze ndi nga kiggala, ssiwulira; Era ndi nga kasiru, sikyayogera.
14
Mazima, nninga omuntu atawulira, Atasobola kwanukula.
15
Ayi Mukama, nneesiga ggwe, Ayi Mukama Katonda wange, ggwe onoonnyanukula.
16
Nkusaba nti toleka balabe bange kusanyuka olw'obuyinike bwange. Tobaganya kunneewaanirako nga ngudde.
17
Ndi kumpi okugwa, Ndi mubulumi obutasalako.
18
Njatula ebibi byange, Nnaanakuwala olw'okwonoona kwange.
19
Abalabe bange balamu, ba maanyi. N'abo abankyayira obwereere bangi.
20
Abo abansasula obubi olw'obulungi Be balabe bange, kubanga nfuba okukola ebirungi.
21
Tondeka, Ayi Mukama, Ayi Katonda wange, tombeera wala.
22
Yanguwa okunnyamba, Ayi Mukama, obulokozi bwange.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes