Luganda Bible
|
| 1 |
| Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange, Nnemenga okwonoonya olulimi lwange: Naasibanga akamwa kange n'olukoba, Omubi ng'ali mu maaso gange. |
| 2 |
| Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera. |
| 3 |
| Omutima gwange ne gwaka munda yange; Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera: Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange: |
| 4 |
| Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu. |
| 5 |
| Laba, ennaku zange wazikola ng'enta; N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera) |
| 6 |
| Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala. |
| 7 |
| Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi. |
| 8 |
| Onziye mu byonoono byange byonna; Tonfuula kivume kya basirusiru. |
| 9 |
| Nasiruwala, saayasamya kamwa kange; Kubanga wakikola. |
| 10 |
| Onzigyeko omuggo gwo: Mmaliddwamu amaanyi olw'okukuba kw'omukono gwo. |
| 11 |
| Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu, Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje: Mazima, buli muntu mukka. (Seera) |
| 12 |
| Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange; Tosirikira maziga gange: Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali. |
| 13 |
| Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/039.mp3
150
39