×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 39

1
Nagamba nti: “Nneekuumanga mu mpisa zange, nnemenga okusobya mu bye njogera. Awali ababi nnaasirikanga.”
2
Nasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; naye neeyongera kunakuwala,
3
ne neeraliikirira. Bwe nalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Kyennava ŋŋamba nti:
4
“Mukama, ntegeeza lwe ndifa, n'ebbanga lye ndiwangaala. Mmanyisa ng'obulamu bwange bwe buyita amangu.”
5
Obulamu bwange wabugerera ku luta. Akaseera ke ndiwangaala, tekalina bwe kenkana mu maaso go. Ddala buli muntu mukka bukka,
6
ayita buyisi ng'ekisiikirize! Byonna by'akola bimufa bwereere. Obugagga bw'akuŋŋaanya, tamanya aliba nnyinibwo.
7
Mukama, era kaakano nsuubire ki? Essuubi lye nnina liri mu ggwe.
8
Nzigyaako ebibi byange byonna, tondeka kusekererwa basirusiru.
9
Siiyogere, ka mbunire nsirike, kubanga ggwe wayagala mboneebone bwe nti.
10
Toyongera kumbonereza, n'empi z'onkubye zimala.
11
Bw'obonereza omuntu ng'omunenya olw'ebibi bye, ozikiriza by'ayagala, ne biba ng'ebiriiriddwa ennyenje. Ddala buli muntu mukka bukka.
12
Wulira kye nsaba, ayi Mukama, owulirize bwe nkaaba. Olw'amaziga ge njiwa, nnyamba! Ndi mugenyi wo, omuyise era omutambuze, ŋŋenda nga bajjajjange bonna.
13
Ndeka nsanyukemu akatono, nga sinnagenda butadda ku nsi kuno.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes