Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola, n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu. Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange nnaabuniranga bubunizi ne soogera.” |
| 2 |
| Naye bwe nasirika ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi, ate obuyinike bwange ne bweyongera. |
| 3 |
| Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange. Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange; kyenava njogera nti: |
| 4 |
| “Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba, n’ennaku ze nsigazza; ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.” |
| 5 |
| Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta. Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu. Buli muntu, mukka bukka. |
| 6 |
| Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize. Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu. Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala. |
| 7 |
| Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe. |
| 8 |
| Ondokole mu bibi byange byonna, abasirusiru baleme okunsekerera. |
| 9 |
| Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange; kubanga kino ggwe wakikola. |
| 10 |
| Olekere awo okunkuba, emiggo gy’onkubye giyitiridde! |
| 11 |
| Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola, omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka. |
| 12 |
| Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali. |
| 13 |
| Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno, ne mbulirawo ddala. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/039.mp3
150
39