×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 39

1
Nnagamba nti, “Nneekuumanga amakubo gange, Nnemenga okusobya mu bye njogera. Nnaasirikanga, Ababi nga bali nange.”
2
Nnasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.
3
Ne nneeraliikirira, Bwe nnalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Ne ndyoka ŋŋamba nti:
4
“Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ebbanga lye ndiwangaala. Ntegeere bwe ndi omumenyefu.
5
Laba, ennaku zange wazigerera ku luta. N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, n'ebwawangaala, mukka bukka.
6
Mazima buli muntu atambulira mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.
7
Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi.
8
Nziggyaako ebibi byange byonna, Tonfuula kivume ky'abasirusiru.
9
Nnasiruwala, ssaayogera, Kubanga wakikola.
10
Toyongera kumbonereza, Amaanyi gampeddemu olw'okukuba kwo
11
Bw'obonereza omuntu olw'okwonoona kwe, Omumaliramu ddala obulungi bwe, nebuba nga obuliriddwa ennyenje. Mazima, buli muntu mukka bukka.
12
Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, owulire okukaaba kwange. Olw'okukaaba kwange, nnyamba. Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
13
Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes