×

Luganda Bible

Zabbuli 4

1
Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow'obutuukirivu bwange; Wansumulula bwe nnali mu nnaku; Onsaasire, ompulire okusaba kwange.
2
Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyuusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)
3
Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.
4
Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire. (Seera)
5
Muweeyo sadaaka ez'obutuukirivu, Era mwesige Mukama.
6
Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe.
7
Otadde essanyu mu mutima gwange, okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.
8
Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes